Ttivvi esinga obugaanzi mu Uganda. Ttivvi y'Omuntu wa bulijjo.


Bukedde TV

BUKEDDE KU MMANDE
🗞️PASS PLE mwali okuyamba omwana wo okuyita P7

🗞️Eby'omutemu w'e Masaka byongedde kulanda! yasooka kutta baffamire ye!!

🗞️Abattakisi ganyegenya abakola ekiro bubakeeredde! Ekikwekweto kijja!

🗞️Ssemaka alumbye mukazi we gye yanobera n'amumiza omusu! Kitalo!!

#Bukeddeupdates

2 weeks ago | [YT] | 18

Bukedde TV

Paasita Martin Ssempa avuddeyo ng’awagira Gashumba ku bye yayogedde ku bapaasita n’ategeeza nti waliwo abeeyita basajja ba Mukama abeefudde bbereeje mu kukuula abantu nga beerimbika mu by’amagero.

“Abasumba okuli Kayanja ne Mbonye bw’otuuka mu makanisa gaabwe mmundu ze zikwaniriza, ’’ Ssempa bwe yategeezezza.

Yanokoddeyo omusumba Mondo Mugisha eyanoonyerezebwako nga kigambibwa nti aliko be yafera.
#Bukeddeupdates

3 weeks ago | [YT] | 39

Bukedde TV

OMulamuzi wa kkooti enkulu e Wakiso Okello Alagidde oludda lwa omubaka Magoola okuleeta abasirikale ba poliisi abaakola alipoota ku bufere ku Dr Forms.
#BukeddeUpdates
📸Abu Batuusa

3 weeks ago | [YT] | 50

Bukedde TV

Kkooti esattuludde abafumbo ababadde bamaze emyaka 33 bonna, lwa musajja kulaajanira mulamuzi nti omukazi amaze emyaka 7 nga tamukombya ku ka muntamu!!

Omulamuzi yeesigamye ku nsonga eyo n'akkirizza baawukane ng'agamba nti abafumbo okummang'ana akaboozi kya bulabe era kivaako omuntu okwekyawa!
#Bukeddeupdates

3 weeks ago | [YT] | 32

Bukedde TV

Ono ye Quraish Kamugisha 38 ,ow'e Kasala LC1 mu Nyendo Mukungwe abadde apangisibwa abasawo abaganda okutta abantu n'abaggyamu emitima n'agibatwalira ku bukadde 2 zokka!

Poliisi y'e Masaka yamukutte n'akkiriza okutta Jackline Natukunda ow'e Lukaya n'agiraga n'engeri gye yakolamu ettemu lino ate n'ategeeza nti akikoze ku bantu abalala bangi!
(Godfrey Kigobero)
#Bukeddeupdates

3 weeks ago | [YT] | 48

Bukedde TV

Ebigezo bya S4 bimaze okutuuka mu kibuga Mbarara ng'abayizi beetegekera okubitandika enkya ku Mmande
(Ali Wasswa)

4 weeks ago | [YT] | 64

Bukedde TV

Ggaasi ayabise n'asesebbula bamakanika 2 ababadde bamukozesa okwokya ekyuma kya ppiki e Lira, ne bafiirawo! Kitalo!
#Bukeddeupdates
(Godfrey Kigobero)

4 weeks ago | [YT] | 15

Bukedde TV

Omusuuga Kamurasi n'Omulangira Wasajja mu kusabira eggwanga Entebbe.
#BukeddeUpdates

4 weeks ago | [YT] | 127

Bukedde TV

Akulira enzikirizza y'Obumu Omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka akubiriza abayizi okuteekamu amanyi nga bakola ebigezo byebagenda okutuula, Owobusobozi okwogera bino abadde akulembeddemu omukolo ogwokusabira abasuka mu 3000 nga kuno kubaddeko aba P7, S4, S6 n'amatedekero agaawagulu. Bibadde Kagadi Muhorro.
#BukeddeUpdates

4 weeks ago | [YT] | 29

Bukedde TV

Biki ebikyetaaga okutereeza mu Uganda nga tukuza emyaka 64 egy'ameefuga

4 weeks ago | [YT] | 0